Nga wasigadde ssaawa mbale okumalako omwaka 2019, nate tukuletedde abantu abali mu ssannyu oluvanyuma lw’okufuna ababeezi mu ngeri ez’enjawulo. Mu mwaka gunno, babadde bangi ddala kyokka tukuletedde abasinze okukola amawulire. 1 – Rema Namakula ne Hamzah Ssebunya 2 – Daxx Kartel ne Momo 19 3 – Pasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries International […]
Nga wasigadde ssaawa mbale okumalako omwaka 2019, nate tukuletedde abantu abali mu ssannyu oluvanyuma lw’okufuna ababeezi mu ngeri ez’enjawulo.
Mu mwaka gunno, babadde bangi ddala kyokka tukuletedde abasinze okukola amawulire.
1 – Rema Namakula ne Hamzah Ssebunya
2 – Daxx Kartel ne Momo 19
3 – Pasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries International ne Suzan Makula oluvanyuma lw’okusuulawo Teddy Naluswa
4 – Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan
5 – Omuyimbi Daddy Andre ne Angela Katatumba
6 – Sasha Brighton ne Shonga
7 – Zahara Totto ne bba. Omusajja tamanyikiddwa mannya wabula abamu bagamba nti munnansi wa South Sudan kyokka Totto agamba nti ava mu ggwanga erya Sweden.
8 – Omubaka wa Palamenti y’obuvanjuba bwa Afrika Mukasa Mbidde ne mukyala we Fiona munnansi wa Rwanda.