Poliisi etandiise okunoonyereza ku ngeri omusirikale waabwe, akulira Poliisi ku kyalo Obuku mu disitulikiti y’e Soroti, Innocent Olaraju, gye yatomedde omuntu naamutta, akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande. Omusirikale Olaraju yatomedde Peter Osakan atemera mu gy’obukulu 66 okumpi ne Cornerstone Pub mu ggombolola y’e Soroti bwe yabadde avuga emmotoka ya Poliisi ng’ali ku ndiima okudda ku kitebe […]
Poliisi etandiise okunoonyereza ku ngeri omusirikale waabwe, akulira Poliisi ku kyalo Obuku mu disitulikiti y’e Soroti, Innocent Olaraju, gye yatomedde omuntu naamutta, akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande.
Omusirikale Olaraju yatomedde Peter Osakan atemera mu gy’obukulu 66 okumpi ne Cornerstone Pub mu ggombolola y’e Soroti bwe yabadde avuga emmotoka ya Poliisi ng’ali ku ndiima okudda ku kitebe kya Poliisi y’e Soroti.
Mu kiseera ekyo, yabadde ku ddukadduka ne bannakibiina kya FDC.
Ssemaka Osakan yakutukidde mu ddwaaliro e Soroti, ekyawaliriza ab’enganda z’omugenzi, okugumba ku kitebe kya Poliisi e Soroti okubanja omusirikale eyasse omuntu waabwe.
Wabula ssentebbe wa LC 3 mu ggombolola y’e Soroti Edward Esegu, agambye nti omusirikale yakiriziganyizza ne famire okuwayo ssente zonna ezinakola mu kuziika oluvanyuma batuule bateese nga 1, omwezi ogujja Ogwokubiri, okusasula famire y’omugenzi.
Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya East Kyoga, Michael Odongo agambye nti omusirikale waabwe agiddwako sitetimenti ku by’okutta omuntu kyokka naye ali ku bujanjabi kuba yakosebwa mu kabenje.
Mungeri y’emu agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku kyavuddeko akabenje wadde omusirikale yabadde avuga ndiima.