Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Stella Amabilis aliko omusuubuzi gw’asindise ku limanda mu kkomera e Luzira, lwa kufuna ssente mu lukujjukujju. Gonhill Nakaweesa myaka 25 nga mutuuze ku kyalo Zana, Makindye Sabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso, yasindikiddwa e Luzira ku misango gy’okubba abantu obukadde bw’ensimbi. Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati wa November, 2019 ne […]
Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Stella Amabilis aliko omusuubuzi gw’asindise ku limanda mu kkomera e Luzira, lwa kufuna ssente mu lukujjukujju.
Gonhill Nakaweesa myaka 25 nga mutuuze ku kyalo Zana, Makindye Sabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso, yasindikiddwa e Luzira ku misango gy’okubba abantu obukadde bw’ensimbi.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati wa November, 2019 ne December 2019 ku Namaganda Plaza mu Kampala, Nakaweesa aliko abantu beyagyako ssente wakati w’obukadde 5 ku 8, ng’abasuubiza okubatwala ku mirimu mu kibuga Dubai okuyoola obukadde bwa ssente.
Mu kkooti, Nakaweesa yegaanye emisango gyonna, ekiwaliriza omulamuzi Amabilis okumusindika ku limanda okutuusa nga 12, February, 2020.
Kigambibwa Nakaweesa yali mukozi mu kkampuni ya VBC Labor Experts Limited ku luguudo lwe Salaama kyokka kyazuuliddwa nti yali mufere. Nakaweesi yakwatibwa nga 13, January, 2020 era abadde akuumibwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala (CPS).