Omuyimbi w’ennyimba z’eddini mu ggwanga erya Rwanda asangiddwa ng’afiiridde mu kaduukulu enkya ya leero. Kizito Mihigo yakwatibwa sabiti ewedde era omulambo gwe gusangiddwa mu kaduukulu ka Poliisi ak’e Remera mu kibuga Kigali. Okusinzira ku Poliisi, Kizito abadde yaguddwako emisango 2 omuli okuwa enguzi n’okugezaako okufuluma eggwanga, okwegatta ku batujju. Emyaka 5 egiyise, Kizito yali yasindikibwa […]
Omuyimbi w’ennyimba z’eddini mu ggwanga erya Rwanda asangiddwa ng’afiiridde mu kaduukulu enkya ya leero.
Kizito Mihigo yakwatibwa sabiti ewedde era omulambo gwe gusangiddwa mu kaduukulu ka Poliisi ak’e Remera mu kibuga Kigali.
Okusinzira ku Poliisi, Kizito abadde yaguddwako emisango 2 omuli okuwa enguzi n’okugezaako okufuluma eggwanga, okwegatta ku batujju.
Emyaka 5 egiyise, Kizito yali yasindikibwa mu kkomera okumala emyaka 10 ku misango gy’ogezaako okutta omukulembeze w’eggwanga erya Rwanda Paul Kagame n’okusiiga Gavumenti ye enziro.
Mu 2018, Kagame yamusonyiwa kyokka ne bamulagira nti alina okusaba okufuluma eggwanga n’okuwa ensonga ezirimu eggumba.
Yo Poliisi egamba nti Kizito yesse ng’ali mu kkomera era okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo.