Pasita akwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu, omutwe gusangiddwa ku katuuti wasinzirira okusabira abantu

©GALAXY

Pasita mu kibuga Lagos mu ggwanga erya Nigeria akwattiddwa, bw’asangiddwa n’omutwe gw’omuntu mu kkanisa ye ku katuuti wasinzirira okusabira abantu. Pasita Frank Obatobi owa The Gods army apostlelic church yakwattiddwa, abawala abakola mu kkanisa ye mu kwaniriza abagenyi n’okubatuuza, webasanze omutwe gw’omuntu ku katuuti. Abawala bakubye enduulu, esombodde endiga za Pasita era wakati nga basunguwadde, […]


Pasita mu kibuga Lagos mu ggwanga erya Nigeria akwattiddwa, bw’asangiddwa n’omutwe gw’omuntu mu kkanisa ye ku katuuti wasinzirira okusabira abantu.

Pasita Frank Obatobi owa The Gods army apostlelic church yakwattiddwa, abawala abakola mu kkanisa ye mu kwaniriza abagenyi n’okubatuuza, webasanze omutwe gw’omuntu ku katuuti.

Abawala bakubye enduulu, esombodde endiga za Pasita era wakati nga basunguwadde, balumbye Pasita makaage, nga baagala okumutta.

Wabula Poliisi eyanguye okutaasa Pasita obutattibwa era amangu ddala akwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu.

Poliisi egamba nti Pasita bakumutwala mu kkooti ku Lwokuna nga 20, omwezi gunno Ogwokubiri.

Zo endiga, zigamba nti Pasita waabwe aludde ng’akola ebyamagero kyokka bewunyizza nnyo okwenyigira mu kusaddaka abantu.