Poliisi ekutte ssemaka bw’asangiddwa ng’asinda omukwano n’embuzzi mu ssaaza lye Taraba mu ggwanga erya Nigeria. Sanni Audu myaka 27 yakwattiddwa era asangiddwa abatuuze mu kiyumba ekitanaggwa ng’ali bute. Abatuuze, bawulidde embuzzi ng’eri mu kaaba era webatuukidde mu kiyumba nga ssemaka yenna atuuyanye ng’ali mu kaboozi. Amaggulu g’omu maaso abadde agasibye emiguwa era ekitabudde abatuuze, wasangiddwawo […]
Poliisi ekutte ssemaka bw’asangiddwa ng’asinda omukwano n’embuzzi mu ssaaza lye Taraba mu ggwanga erya Nigeria.
Sanni Audu myaka 27 yakwattiddwa era asangiddwa abatuuze mu kiyumba ekitanaggwa ng’ali bute.
Abatuuze, bawulidde embuzzi ng’eri mu kaaba era webatuukidde mu kiyumba nga ssemaka yenna atuuyanye ng’ali mu kaboozi.
Amaggulu g’omu maaso abadde agasibye emiguwa era ekitabudde abatuuze, wasangiddwawo ne Kondomu enkozese, ekiraga nti embuzzi abadde agyambalidde.
Ssemaka Audu alina omukyala n’omwana omu, era asabye abatuuze okusonyiyibwa.
Mu kwewozaako, agambye nti yasindikiddwa omusawo w’ekinnansi okusobya ku mbuzzi, okutangaza emikisa gye egy’okulwanyisa obwavu.
Wabula Poliisi emuggalidde era essaawa yonna bamutwala mu kkooti ku misango gy’okutyoboola eddembe ly’ebisolo.