338SharesPoliisi ekutte abantu 11 abagambibwa okwenyigira mu kubba omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa Bebe Cool obuccupa ng’ali ku siteegi mu konsati ya Cindy eyabadde ku Cricket Oval e Lugogo ekiro ky’olunnaku Olwomukaaga. Bebe Cool, bwe yalinye ku siteegi, abantu bamukasukidde obuccupa obulimu amazzi kyokka teyavudde ku siteegi wabula okweyongera okukyamula abawagizi be. Okusinzira ku mwogezi wa […]
Poliisi ekutte abantu 11 abagambibwa okwenyigira mu kubba omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa Bebe Cool obuccupa ng’ali ku siteegi mu konsati ya Cindy eyabadde ku Cricket Oval e Lugogo ekiro ky’olunnaku Olwomukaaga.
Bebe Cool, bwe yalinye ku siteegi, abantu bamukasukidde obuccupa obulimu amazzi kyokka teyavudde ku siteegi wabula okweyongera okukyamula abawagizi be.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, waliwo abasirikale abateekeddwa mu bantu nga bali mu ngoye ezabuligyo abasobodde okubayamba okukwata abamu ku badigize abenyigidde mu kukasuka obuccupa.
Enanga agamba nti balina okunoonyereza oba abamu ku bakwate bebamu kabinja kabakozi be ffujjo abaludde nga bakuba abayimbi obuccupa ku bivvulu eby’enjawulo.