KITALO! Ssemaka attiddwa mu bukambwe, atemeddwa ejjambiya ku nsingo, omutemu bamusse

©GALAXY

Poliisi eri mu kunoonya abatuuze abatwalidde amateeka mu ngalo ne batta, omusajja omutemu akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo. Mucunguzi Richard myaka 40 nga mutuuze ku kyalo Mpangango mu ggombolola y’e Nyamirama mu disitulikiti y’e Kanungu yattiddwa oluvanyuma lw’okutta ssemaka Ndabawereza Banadda myaka 60 abadde omutuuze ku kyalo Mukirwa mu ggombolola y’e Nyamirama e Kanungu. Ssemaka Banadda yabadde […]


Poliisi eri mu kunoonya abatuuze abatwalidde amateeka mu ngalo ne batta, omusajja omutemu akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Mucunguzi Richard myaka 40 nga mutuuze ku kyalo Mpangango mu ggombolola y’e Nyamirama mu disitulikiti y’e Kanungu yattiddwa oluvanyuma lw’okutta ssemaka Ndabawereza Banadda myaka 60 abadde omutuuze ku kyalo Mukirwa mu ggombolola y’e Nyamirama e Kanungu.

Ssemaka Banadda yabadde makaage, Mucunguzi kwekumulumba ng’akutte ejjambiya era yamutemye ku nsingo, yagudde wansi omulundi gumu nafiirawo wakati mu kitaba ky’omusaayi.

Amangu ddala, abatuuze bekozeemu omulimu ne banoonya Mucunguzi ne bamukuba okutuusa lwe yafudde.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, Poliisi atandiise okunoonyereza lwaki Mucunguzi yatemudde Banadda ssaako n’okunoonya abatuuze bonna abatwalidde amateeka mu ngalo ku misango gy’okutta omuntu.