Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga, Dr. Jane Ruth Aceng alaze lwaki buli munnayuganda agwanidde okugondera ebiragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga y’okulwanyisa ekirwadde kya Covid-19 ekisaasanyizibwa akawuka ka Corona Virus. Minisita Aceng bw’abadde anyonyola Pulezidenti Museveni ku Corona Virus mu State House, agambye nti ku balwadde 45, 19 babakwatira ku kisaawe Entebe, 23 babadde […]
Minisita w’ebyobulamu mu ggwanga, Dr. Jane Ruth Aceng alaze lwaki buli munnayuganda agwanidde okugondera ebiragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga y’okulwanyisa ekirwadde kya Covid-19 ekisaasanyizibwa akawuka ka Corona Virus.
Minisita Aceng bw’abadde anyonyola Pulezidenti Museveni ku Corona Virus mu State House, agambye nti ku balwadde 45, 19 babakwatira ku kisaawe Entebe, 23 babadde mu Kalantini, ate 13 baava mu bantu oluvanyuma lw’okudda okuva mu nsi z’ebweru ne bayita ku kisaawe nga tebatwaliddwa mu Kalantini.
Minisita agamba nti okunoonyereza kwabwe kulaga nti abalwadde 13 baasisinkana abantu 606, ekiraga nti abantu abo, kuyinza okubaako abalwadde kyokka mu kiseera kino bali mu bantu, ekintu eky’obulabe eri eggwanga lyonna.
Mu kiseera, kino Uganda erina abalwadde 48 oluvanyuma lw’okuzuula abalwadde abalala 3 akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokutaano era waliwo okutya nti abalwadde bayinza okweyongera obungi.
Minisita Aceng asabye bannayuganda okuteeka mu nkola ebiragiro bya Pulezidenti Museveni kuba ekiseera kino, Minisitule y’ebyobulamu agenda kukyeyambisa okunoonyereza abantu abalina obubonero obwefananyirizaako obw’abantu abalina Corona Virus, okutwalibwa beekebejjebwe ssaako n’abantu bonna abali mu Kalantini.
Webukeeredde enkya ya leero ku Lwomukaaga nga 4, April, 2020, nga mu nsi yonna, abalwadde bali 1,119,744 ate abaakafa obulwadde bwa Covid-19 bali 59,245.
America erina abalwadde 277,522 ate abaakafa 7,403, Italy abalwadde bali 119,827, ate abaakafa 14,681, Spain erina abalwadde 119,199 ate abaakafa 11,198.
Mu Germany, abalwadde bali 91,159 ate abaakafa 1,275, France abalwadde bali 82,165 ate abaakafa 6,507 nga mu China obulwadde gye bwatandikira, abalwadde bali 81,639 ate abaakafa 3,326.