ESSANNYU LY’OKU NSI! Bibiino ebiyamba omusajja n’omukyala okutuuka bombi ku ntikko mu kiseera kino ekya Kalantini

©GALAXY

Mu kiseera kino ng’abantu bali mu Kalantini ng’emu ku ngeri y’okutangira ssennyiga omukambwe Covid-19 okusasaana, Ssenga Kawomera agamba nti mu kiseera kino bangi ku baagalana balina ebiseera bingi okunyumya akaboozi kuba y’emu ku ngeri y’okwewumuza. Ssenga Kawomera agamba nti mu kaboozi, omusajja n’omukyala bombi okutuuka ku ntikko, ly’essannyu ly’omu kisenge mu nsi yonna wadde abamu […]


Mu kiseera kino ng’abantu bali mu Kalantini ng’emu ku ngeri y’okutangira ssennyiga omukambwe Covid-19 okusasaana, Ssenga Kawomera agamba nti mu kiseera kino bangi ku baagalana balina ebiseera bingi okunyumya akaboozi kuba y’emu ku ngeri y’okwewumuza.

Ssenga Kawomera agamba nti mu kaboozi, omusajja n’omukyala bombi okutuuka ku ntikko, ly’essannyu ly’omu kisenge mu nsi yonna wadde abamu tebafaayo ku banaabwe.

Bw’abadde awayamu naffe, Ssenga Kawomera alambuludde engeri mukaaga (6) ezisobola okuyamba abaagalana bombi okutuuka ku ntikko.

1 – Munno mugambe nti oyagala mutuukire wamu ku ntikko. Kino bw’anaakimanyirawo nga mwakatandika, ajja kukiteeka mu bwongo era mujja kulaba nga kituukiridde era nga munyumiddwa mwenna.

2 – Mwembi mulina okussa ebirowoozo ku kikolwa. Ssenga Kawomera agamba nti ekyo kijja kubongera obwagazi obunaabayamba okutuuka ku ntikko.

3 – Olina okumanya munno, omanye awava obwagazi era omanye n’engeri y’okumunoonyaamu acamuke. Ssenga Kawomera agamba nti kijja kubayamba mwembi okunyumirwa akaboozi n’okutuuka mwembi ku ntikko.

4 – Omukazi ng’oyagala okutuuka ku ntikko, weewale okwegatta mu kiseera nga tolina bwagazi oba ng’olina ebirowoozo ebisukkiridde kuba ebintu tebigenda kutambulira bulungi.

5 – Omusajja bw’oba omalamu mangu akagoba, osobola okufunayo obukodyo obukuyamba okuwangaalira mu kisaawe kiyambe ne munno okumalamu akagoba.

6 – Ssenga Kawomera agamba nti mu mbeera yonna, olina okwegatta n’omusajja oba omukyala gw’oyagala ku mutima. Okwegatta n’omuntu gw’otoyagala, kiyinza okuba ekizibu mwenna okutuuka ku ntiiko mu kiseera kye kimu.