Okutya kweyongera mu Africa olwa mawanga okweyongera okufuna abalwadde ba Kolona. Webuzibidde olwaleero, nga mu ggwanga erya Tanzania, efunye abalwadde abalala 53, ne baweza omuwendo gw’abalwadde 147, abantu 5 bebakafa, omu (1) afudde olwaleero. Mu ggwanga erya DR Congo, olunnaku olwaleero bazudde abalwadde 20 ne baweze abalwadde 287, abantu 23 bebakafa ng’omu afudde olwaleero. Rwanda […]
Okutya kweyongera mu Africa olwa mawanga okweyongera okufuna abalwadde ba Kolona.
Webuzibidde olwaleero, nga mu ggwanga erya Tanzania, efunye abalwadde abalala 53, ne baweza omuwendo gw’abalwadde 147, abantu 5 bebakafa, omu (1) afudde olwaleero.
Mu ggwanga erya DR Congo, olunnaku olwaleero bazudde abalwadde 20 ne baweze abalwadde 287, abantu 23 bebakafa ng’omu afudde olwaleero.
Rwanda erina abalwadde 138 nga 60 basiibuddwa, Somalia erina abalwadde 80, abaakafa bali 5.
Ate mu ggwanga erya Sudan, balina abalwadde 32, abantu 5 bebakafa, Burundi erina abalwadde 5, omu yeyakafa, South Sudan erina abalwadde 4.
Mu Kenya, olunnaku olwaleero, bazudde abalwadde 12, ne baweza omuwendo gw’abantu 246, abakafa bali 11.
Mu nsi yonna, abalwadde bali 2,227,630 ate abaakafa bali 150,623. Uganda erina abalwadde 55, 20 basiibuddwa, 35 bebakyali mu ddwaaliro.