RIP! Allimadi Barbra eyeegulira erinnya mu kulaga Poliisi amabeere afudde, Gen. Muntu awunze

©GALAXY

Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ekivuddeko omukyala Allimadi Ann Barbra okufa, abadde omutuuze we Kiwatule. Omukyala Allimadi afiiridde ku myaka 48 era omulambo gwe gulabiddwa omu ku batuuze Wakibra Harry era amangu ddala atemeza ku Poliisi. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Patrick Onyango, omugenzi yabadde omukwanaganya w’emirimu mu kibiina kya Alliance […]


Poliisi mu Kampala etandiise okunoonyereza ekivuddeko omukyala Allimadi Ann Barbra okufa, abadde omutuuze we Kiwatule.

Omukyala Allimadi afiiridde ku myaka 48 era omulambo gwe gulabiddwa omu ku batuuze Wakibra Harry era amangu ddala atemeza ku Poliisi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Patrick Onyango, omugenzi yabadde omukwanaganya w’emirimu mu kibiina kya Alliance for National Transformation, ekikulemberwa Gen Mugisha Muntu.

Poliisi egamba nti omulambo, gusangiddwa ng’omukyala yafudde yevuunise, tewali kabonero kalaga nti yatugiddwa wadde okutusibwako ekiwundu kyonna, ekiraga nti yafudde ng’ali mu bulumi.

Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika lye Mulango era Poliisi etandikiddewo okunoonyereza ekivuddeko omukyala Alimadi okufa.

Omugenzi Allimadi ajjukirwa nnyo olw’okulemberamu abakyala okulumba ekitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS mu 2012 nga beeyambudde bulawuzi okulaga amabeere, nga bawakanya ekya Poliisi okutulugunya munnakibiina kya FDC omukyala Ingrid Turinawe ne bamunyiga amabeere.