UGANDA ZZAABU! Abakungu 4 abali ku misango gy’emmere mu ofiisi ya ssaabaminisita bayimbuddwa ku bukadde 12

©GALAXY

Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Doreen Karungi akirizza abakungu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda okweyimirirwa. Abayimbuddwa kuliko omuwandiisi ow’enkakakkalira-Christine Guwatudde Kintu, John Martin, (Kaminsona avunaanyizibwa ku buyambi bw’ebigwa tebiraze), Omuwandiisi Joel Wanjala ne Henry Kyeyune Lutimba, amyuka Kaminsona w’ebigulibwa n’ebitundibwa mu ofiisi ya ssaabaminisita. Kigambibwa nti bano baduumuula emiwendo gy’emmere omuli omuwunga, ebijanjaalo, […]


Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Doreen Karungi akirizza abakungu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda okweyimirirwa.

Abayimbuddwa kuliko omuwandiisi ow’enkakakkalira-Christine Guwatudde Kintu, John Martin, (Kaminsona avunaanyizibwa ku buyambi bw’ebigwa tebiraze), Omuwandiisi Joel Wanjala ne Henry Kyeyune Lutimba, amyuka Kaminsona w’ebigulibwa n’ebitundibwa mu ofiisi ya ssaabaminisita.

Kigambibwa nti bano baduumuula emiwendo gy’emmere omuli omuwunga, ebijanjaalo, n’ebintu ebirala, gavumenti bye yali erina okugula esobole okubigabira abantu baabulijjo mu kiseera kino ekya Kolona.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, omusango baaguzza nga 31, March, 2020 nga basinziira ku ofiisi ya Ssaabaminisita ezisangibwa ku poloti 9-11, ku luguudo Sir Apollo Kaggwa, mu Kampala.

Mu kkooti, bawadde ensonga ez’enjawulo omuli obulwadde ate nga balina eddembe lyabwe okweyimirirwa.

Guwatudde aleese abantu ab’enjawulo omuli bba Edward Kintu eyali omukozi mu bbanka ya Uganda, mukwano gwa famire Prof. John Dumba Ssentamu eyali amyuka Chansala we Makerere.

Wanjala aleese omubaka omukyala we Namutumba Mariam Nayigga ne muganda we Joshua Wanyama omusomesa we Makerere.

Ate Owor, mu kkooti aleese omubaka we Tororo, Apollo Ofwono ne Jacob Oboth owe West Budama South ate Henry Lutimba ayanjudde Stephen Kyaterekera omuwandiisi mu Minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga ne Yinginiya Kenneth Magembe era kkooti ematidde n’abantu abaleeteddwa.

Omulamuzi bonna abayimbudde ku ssente obukadde 3 buli omu ez’obuliwo ate abantu ababeyimiridde obukadde 20 buli omu nga sizaabuliwo era balina okudda mu kkooti nga 4, ogwomukaaga, 2020.

Omulamuzi Karungi yeyambisizza enkola ya tekinologiya ow’omulembe eya ‘video conference’ era abavunaanibwa basinzidde mu kkomera lye Kigo ne Kitalya okuyimbulwa.