Resident District Commissioner (RDC) we Mukono Fred Bamwine, alagidde ebitongole ebikuuma ddembe okunoonyereza ku munnyo ogwawereddwa olukiiko lwa Disitulikiti olukola ku nsonga za Kolona n’okuyamba abantu abali mu bwetaavu mu kiseera kino. Omunnyo gwavudde mu ggwanga erya Kenya nga guwandikiddwako nti gwa bannansi ba Kenya bokka nga mu lukiiko lwa Covid19 Task Force y’e Mukono, […]
Resident District Commissioner (RDC) we Mukono Fred Bamwine, alagidde ebitongole ebikuuma ddembe okunoonyereza ku munnyo ogwawereddwa olukiiko lwa Disitulikiti olukola ku nsonga za Kolona n’okuyamba abantu abali mu bwetaavu mu kiseera kino.
Omunnyo gwavudde mu ggwanga erya Kenya nga guwandikiddwako nti gwa bannansi ba Kenya bokka nga mu lukiiko lwa Covid19 Task Force y’e Mukono, gwatwaliddwayo ekitongole ky’obwanakyewa kye bagaanye okwatuukiriza erinnya.
RDC Bamwine agamba nti balina okunoonyereza lwaki omunnyo gwa bannansi ba Kenya bokka kuba kiteeberezebwa nti okuyingira Uganda, gwakukusiddwa nga bayita ku Lake Victoria.
Mungeri y’emu agambye nti olukiiko lwa Disitulikiti nga lukulembeddwamu eyali akulira Poliisi y’ensi yonna mu Uganda Fred Yiga, luyimirizza eky’okuddamu okuwa abantu omunnyo ogwavudde mu ggwanga erya Kenya okutuusa nga bakoze okunoonyereza.
Ate Frank Mpaulo owa Iso mu disitulikiti y’e Mukono, agambye nti okunoonyereza kutandikiddewo okuzuula lwaki omunnyo, gwayingidde mu Uganda ate nga tegulina kufuluma ggwanga erya Kenya.
Wabula Fred Gonja, omuwandiisi ku mwalo gwe Katosi agambye nti kisoboka, okukusa ebintu okuva mu ggwanga erya Kenya nga bayita ku nnyanja, okuyingira Uganda.