BAMBI! Kyaddaki Pasita Yiga ayogedde ekirwadde ekimulya ekimutiisa okufa, Omulamuzi amuyimbudde kuba omusajja ali ku ddaagala ekambwe

©GALAXY

258SharesBya Zainab Ali Kyadaki Pasita Augustine Yiga owa Revival Christian Church e Kawaala ayimbuddwa okuva ku limanda mu Kkomera lye Kitalya mu disitilikiti y’e Wakiso oluvanyuma lw’omulamuzi omukiriza okweyimirirwa ng’asinzira ku nkola ya Video Conferencing. Pasita Yiga amanyiddwa nga ‘Abizaayo’, ayimbuddwa kakalu kkooti ka ssente obukadde 2 ezitali za buliwo ate abamweyimiridde bonna 3 obukadde 5 […]


Bya Zainab Ali

Kyadaki Pasita Augustine Yiga owa Revival Christian Church e Kawaala ayimbuddwa okuva ku limanda mu Kkomera lye Kitalya mu disitilikiti y’e Wakiso oluvanyuma lw’omulamuzi omukiriza okweyimirirwa ng’asinzira ku nkola ya Video Conferencing.

Pasita Yiga amanyiddwa nga ‘Abizaayo’, ayimbuddwa kakalu kkooti ka ssente obukadde 2 ezitali za buliwo ate abamweyimiridde bonna 3 obukadde 5 nga nazo si za buliwo.

Omulamuzi Timothy Lumunye owa Buganda Road okuyimbula Pasita Yiga asinzidde ku bbaluwa okuva mu ddwaaliro erya Lisa Medical Centre e Mengo, ekaatiriza nti mulwadde wa sukaali  nga yetaaga obujanjabi nga tali mu kkomera.

Munnamateeka we Wilber Kayiwa ategeezezza omulamuzi nti Pasita Yiga yalina n’okufuna obujanjabi nga 15, omwezi oguwedde Ogwokuna, 2020 kyokka olw’okuba ali mu kkomera, tekyasoboka.

Abamweyimiridde kuliko Kimbowa Richard amanyiddwa ennyo nga Kojja Kimbowa ng’atunda ddaggala lya Kinnansi omutuuze okuva Wakaliga, omukyala Twinomugisha Arica omutuuze we Sseguku- Ndejje nga musubuuzi ne Kato Benson okuva e Namungoona mu Divizoni y’e Rubaga nga naye musubuuzi.

Wabula omujulizi omukyala Twinomugisha Kkooti emugaanye kuba gyabeera e Sseguku, tewagwa mu kitundu kkooti mwetuula era omulamuzi asinzidde ku bajjulizi 2 okuyimbula Yiga.

Pasita Yiga wadde ayimbuddwa, ateekeddwaako obukwakulizo obukambwe omuli obutanyega kintu kyonna ku nsonga za Coronavirus mu maaso g’endiga ze, ku TV ye, ku TV yonna endala wadde okweyambisa omukutu gwonna ogw’amawulire era wakudda mu kkooti nga 25, omwezi ogujja Ogwomukaaga.

Kinnajjukirwa nti Pasita Yiga, myaka 43, yakwatibwa naggulwako omusango ogw’okwenyigira mu kikolwa ekiyinza okuviirako okusasaanya endwadde ekwata, nga kigambibwa nti omusango yaguzza nga 27 ogw’okusatu 2020, ku Kanisa ye e Kawaala, bwe yagamba nti teriyo bulwadde obuyitibwa Corona Virus mu Uganda ne mu Africa mbu Gavumenti zaagala kweyambisa kiseera kino okufuna ensimbi, wadde mu kkooti yagwegaana.