BITABUSE! Sipiika Kadaga ayingidde mu nsonga z’omubaka Zaake, ayise Minisita Odongo abitebye mu bwangu

©GALAXY

Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga alidde obuwuka ayise bunnambiro Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odongo mu Palamenti ku Lwokuna lwa sabiti eno nga 7, May, 2020, okulambulula ku nsonga z’omubaka wa Monicipaali y’e Mityana Francis Zaake eyakubiddwa ng’ali mu kaduukulu ka Poliisi. Zaake yagiddwa mu ddwaaliro e Kiruddu natwalibwa mu ddwaaliro e Rubaga […]


Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga alidde obuwuka ayise bunnambiro Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odongo mu Palamenti ku Lwokuna lwa sabiti eno nga 7, May, 2020, okulambulula ku nsonga z’omubaka wa Monicipaali y’e Mityana Francis Zaake eyakubiddwa ng’ali mu kaduukulu ka Poliisi.

Zaake yagiddwa mu ddwaaliro e Kiruddu natwalibwa mu ddwaaliro e Rubaga sabiti ewedde ku bigambibwa nti yakubiddwa ng’ali mu mbeera.

Yakwattibwa nga 19, omwezi oguwedde Ogwokuna, okuva mu makaage ku kyalo Buswabulungo mu Monicipaali y’e Mityana ku bigambibwa nti yagyemera omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, naawa abantu emmere, ekiyinza okutambuza ekirwadde ki Kolona.

Enkya ya leero, sipiika Kadaga agambye nti Zaake yakubiddwa kwekuyita Minisita Gen. Odongo okutangaza ku nsonga lwaki yakubiddwa n’engeri gye bageenda okubonerezaamu abaakikoze.

Ate ku nsonga y’okutyoboola eddembe ly’obuntu, Kadaga agambye nti Poliisi yegumbulidde okukwata abantu ku wikendi nga bakimanyi kkooti tezituula wabula bakikola bakigenderedde okubakuumira mu kaduukulu.

Kadaga abikudde ekyama nti Zaake yamutegezezza nti yakubiddwa nnyo ng’ali mu kaduukulu nga taweereddwa nsonga yonna.

Ate omubaka we Kalungu East, Joseph Sewungu Gonzaga agamba nti kiswaza Poliisi okukwata Zaake ku nsonga y’okuwa abantu emmere ate abamu n’etya okubakwata.

Sewungu anokoddeyo ensonga ya Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza Rosemary Nansubuga Seninde, Minisita omubeezi owa Micro Finance mu ggwanga, Haruna Kyeyune Kasolo n’abalala abenyigira mu kuwa abantu emmere kyokka Poliisi yatya okubakwata.