KINO KYE BAYITA LAAVU! Zari alaze Platnumz nti mu Uganda ali ku katale, akyamudde Grenade ne Kenzo ku lunnaku lumu

©GALAXY

154SharesOmukyala Zari Hassan alaze nti wadde yazaala abaana mu muyimbi Omutanzaniya Diamond Platnumz, abayimbi bannayuganda bamusula ku mwoyo. Mu kiseera nga waliwo ebigambo ebyogerwa nti Zari ali mu laavu n’omuyimbi Grenade Official eyakuyimbira ‘Nkuloga’, wabula maama Abdul Karim Hassan alaze nti abantu balina eddembe lyabwe okwogera. Zari asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Instagram okusaba abantu […]


Omukyala Zari Hassan alaze nti wadde yazaala abaana mu muyimbi Omutanzaniya Diamond Platnumz, abayimbi bannayuganda bamusula ku mwoyo.

Mu kiseera nga waliwo ebigambo ebyogerwa nti Zari ali mu laavu n’omuyimbi Grenade Official eyakuyimbira ‘Nkuloga’, wabula maama Abdul Karim Hassan alaze nti abantu balina eddembe lyabwe okwogera.

Zari asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Instagram okusaba abantu okunyumirwa n’okuwagira oluyimba lwa mukwano gwe Grenade ne Eddy Kenzo, “Dis Dat“.

Zari alaze kye bayita laavu mu kuwagira myuziki wa Uganda kuba y’omu ku bakyala mu East Africa ne Africa abalina abagoberezi abangi ku mikutu gya social media omuli Face Book ne Instagram.

https://www.instagram.com/p/B_z0dqrH38I/