TUKOOYE! Okutwalira amateeka mu ngalo, abantu 19 battiddwa, Poliisi eyogedde ekiddako

©GALAXY

Abatuuze mu bitundu bye Luweero banokoddeyo ezimu ku nsonga lwaki benyigidde okutwalira amateeka mu ngalo omuli n’okutta abamu abantu abakwattiddwa. Okusinzira kw’alipota ya Poliisi eya 2019 eyafulumiziddwa sabiti ewedde, Luweero yakutte kyakusatu ku bantu okutwalira amateeka mu ngalo nga batta bantu n’emisango 19 nga Mbarara yakutte Kisooka n’emisango 25 ate Arua kyakubiri n’emisango 24. Alipoota, […]


Abatuuze mu bitundu bye Luweero banokoddeyo ezimu ku nsonga lwaki benyigidde okutwalira amateeka mu ngalo omuli n’okutta abamu abantu abakwattiddwa.

Okusinzira kw’alipota ya Poliisi eya 2019 eyafulumiziddwa sabiti ewedde, Luweero yakutte kyakusatu ku bantu okutwalira amateeka mu ngalo nga batta bantu n’emisango 19 nga Mbarara yakutte Kisooka n’emisango 25 ate Arua kyakubiri n’emisango 24.

Alipoota, eraga nti abantu abattiddwa mu kutwalira amateeka mu ngalo kuliko abatemu, ababbi n’okusingira ddala aba bodaboda n’abasawo b’ekinnansi.

Poliisi y’e Luweero, egamba nti abatuuze mu bitundu bye Kikyusa, Wobulenzi ne Butuntumula mu tawuni Kanso y’e Luweero, bebakyasiinze okutwalira amateeka mu ngalo.

Wabula addumira Poliisi y’e Luweero, Abraham Tukundane agamba nti okusomesa abatuuze akabi akali mu kutwalira amateeka mu ngalo kibayambye, okukendeza ku bantu abattibwa.

Ate abali mulimu gwa bodaboda, bagamba nti ababbi okubatta ne batwala Ppikipiki zaabwe y’emu ku nsonga lwaki batwalira amateeka mu ngalo ssaako ne Poliisi okuyimbula ababbi abakwattiddwa ku misango gy’obubbi.