LABA SSENTE! Alina yayongerwako, Pasita Robert Kayanja n’omugagga Sembuya amazzi gabasazeeko, ebyenjanya bibasanga mu ddiro olw’amazzi

©GALAXY

Abantu abali ku mbalama z’ennyanja Nalubaale embeera eyongedde okubasobera olwa mazzi okweyongera okubasindikiriza. Mu kiseera kino bangi ku bantu bakaaba omuli abavu n’abagagga olw’amazzi. Mu bitundu bye Mulungu, Munyonyo ne Port Bell e Luzira, abantu abasoba mu 50,000 bakyasobeddwa eky’okukola. Ate Ggaba, Munyonyo ne Kawuku abagagga omuli Hamis Kiggundu, Christopher Sembuya owa Sembuule Steel Mills […]


Abantu abali ku mbalama z’ennyanja Nalubaale embeera eyongedde okubasobera olwa mazzi okweyongera okubasindikiriza.

Mu kiseera kino bangi ku bantu bakaaba omuli abavu n’abagagga olw’amazzi.
Mu bitundu bye Mulungu, Munyonyo ne Port Bell e Luzira, abantu abasoba mu 50,000 bakyasobeddwa eky’okukola.

Ate Ggaba, Munyonyo ne Kawuku abagagga omuli Hamis Kiggundu, Christopher Sembuya owa Sembuule Steel Mills Ltd, Pasita Robert Kayanja ne Pastor Gary Skinner, amazzi gatuuse ku nju zaabwe n’okuyingira munda.

Amaka ga Pasita Robert Kayanja

Amaka g’omugagga Christopher Sembuya

Amaka g’omugagga Hamis Kiggundu