KIRI UGANDA! Omusuubuzi w’e Kireka asse mukyala we n’abaana 2 lwa laavu, akooye amateeka mu kaboozi, emirambo agisibye mu kutiya

©GALAXY

Entiisa n’ekiyongobero bibuutikidde abatuuze b’e Bbanda mu Divizoni y’e Nakawa, ssemaka bw’asse mukyala we ssaako n’abaana babiri (2), era akadde kuduuka ng’emirambo 3 agisibidde mu nnyumba nga giteekeddwa mu kuyita. Ssemaka kalibutemu ategerekeseeko lya Yasin nga musuubuzi mu Katale k’e Kireka era mukyala we ssaako n’abaana, yabatemudde kiro era buli mulambo gusangiddwa mu kutiya yagwo. […]


Entiisa n’ekiyongobero bibuutikidde abatuuze b’e Bbanda mu Divizoni y’e Nakawa, ssemaka bw’asse mukyala we ssaako n’abaana babiri (2), era akadde kuduuka ng’emirambo 3 agisibidde mu nnyumba nga giteekeddwa mu kuyita.

Ssemaka kalibutemu ategerekeseeko lya Yasin nga musuubuzi mu Katale k’e Kireka era mukyala we ssaako n’abaana, yabatemudde kiro era buli mulambo gusangiddwa mu kutiya yagwo.

Okusinzira kw’amyuka ssentebbe w’ekyalo Majidu Kiggundu, Yasin olw’amaze okutta mukyala we n’abaana, ennyumba yonna agisibye era Poliisi emaze kutuuka, okumenya kufulu.

Mungeri y’emu Kiggundu agumizza abatuuze nti wadde Yasin adduse oluvanyuma lw’okutta abantu 3, Poliisi etandiise okumunoonya ku misango gy’obutemu.

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire, agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ebikwata ku bagenzi n’okuzuula omusajja gyaddukidde.