Minisitule y’ebyobulamu efulumizza etteka nga kyabuwaze buli muntu yenna okwambala Masiki, okutambula mu lujjudde nga kikoleddwa okutangira Kolona okusasaana. Ekyama ekyo, kibikuddwa omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Atwine Diana era agamba nti Poliisi, agenda kutandikirawo okukiteeka mu nkola. Mu kwogerako eri bannamawulire mu Kampala, Dr. Atwine agambye nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe […]
Minisitule y’ebyobulamu efulumizza etteka nga kyabuwaze buli muntu yenna okwambala Masiki, okutambula mu lujjudde nga kikoleddwa okutangira Kolona okusasaana.
Ekyama ekyo, kibikuddwa omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Atwine Diana era agamba nti Poliisi, agenda kutandikirawo okukiteeka mu nkola.
Mu kwogerako eri bannamawulire mu Kampala, Dr. Atwine agambye nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yali akirizza abantu abamu, okudda ku mirimu omuli aba galagi, yategeeza nti balina okwambala masiki kyokka ekyewunyisa bangi batambulirawo nga tebazambadde, ekiyinza okutambuza obulwadde.
Alabudde, buli muntu agenda okuva awaka okwambala masiki nga Poliisi tennamukwata olw’emputtu.
Mungeri y’emu alabudde abali ku ddimu ly’okutunda masiki, obutakkiriza muntu yenna kuzeegezaamu kuba kiyinza okutambuza obulwadde.
Mu kiseera kino Uganda erina abalwadde ba Kolona 126 nga abasukka 50 basiibuddwa okuva mu malwaliro nga bawonye bulungi obulwadde.
Polly Namaye, amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga alabudde abantu okwambala Masiki olunnaku olw’enkya ku Lwokuna kuba Poliisi egenda kutandikirawo okukwata abagyemedde ekiragiro kya pulezidenti Museveni ne Minisitule y’ebyobulamu.