MULINDE ENKYA! Pulezidenti M7 akoze enkyukakyuka mu kwogera kwe eri eggwanga, Bannayuganda baguddewo ekigwo

©GALAXY

Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akoze enkyukakyuka mu kwogera kwe eri eggwanga. Museveni abadde yalangiridde okwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero ku ssaawa 2 ez’ekiro, kyokka oluvanyuma okwogera kukyusiddwa nga tewali nsonga yonna ewereddwa. Don Wanyama, munnamawulire wa Pulezidenti Museveni, agambye nti Mukama we wakwogera enkya ku ssaawa zezimu […]


Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akoze enkyukakyuka mu kwogera kwe eri eggwanga.

Museveni abadde yalangiridde okwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero ku ssaawa 2 ez’ekiro, kyokka oluvanyuma okwogera kukyusiddwa nga tewali nsonga yonna ewereddwa.

Don Wanyama, munnamawulire wa Pulezidenti Museveni, agambye nti Mukama we wakwogera enkya ku ssaawa zezimu 2 z’ekiro.

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni bangi ku bannansi bakulindiridde nga bagamba nti ayinza okuggyawo omuggalo, okubakkiriza okudda ku mirimu.

Ennaku 14 ez’omuggalo, zikwako olunnaku olw’enkya ku Lwokubiri.