TEMUGEZA! Mwebuuze ku basawo nga temunnaba kwambala Masiki, Gav’t erabudde ku balwadde b’endwadde enkambwe

©GALAXY

Omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku ndwadde ez’amaanyi Dr. Monica Musenero anokoddeyo ezimu ku ndwadde nga abazirina, tebalina kwambala Masiki. Gavumenti yalangiridde nti omwambala masiki kwafuuse kwabuwaze eri abantu bonna abatambula, nga kyakoleddwa okutangira abantu okusasaanya Kolona. Webuzibidde nga Uganda erina abalwadde 264 oluvanyuma lw’okuzuula abantu 4 nga balwadde kw’abo 2,228 abakebeddwa olunnaku olw’eggulo. Ku 4 […]


Omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku ndwadde ez’amaanyi Dr. Monica Musenero anokoddeyo ezimu ku ndwadde nga abazirina, tebalina kwambala Masiki.

Gavumenti yalangiridde nti omwambala masiki kwafuuse kwabuwaze eri abantu bonna abatambula, nga kyakoleddwa okutangira abantu okusasaanya Kolona.

Webuzibidde nga Uganda erina abalwadde 264 oluvanyuma lw’okuzuula abantu 4 nga balwadde kw’abo 2,228 abakebeddwa olunnaku olw’eggulo.

Ku 4 abazuuliddwa nga balwadde kuliko omusajja myaka 28 nga mutuuze mu Disitulikiti y’e Buikwe n’omusajja omulala myaka 26 nga mutuuze we Kyambogo mu Kampala.

Ate Omulwadde owokusatu n’owokuna bonna ba ddereeva bannayuganda nga baavudde mu ggwanga erya Tanzania ku nsalo y’e Mutukula era mu kiseera kino baatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Masaka.

Ate ba ddereeva 36 okuli bannansi ba Tanzania 17, Kenya 15, Eritrea 3, Burundi 1, abazuuliddwa nga balwadde ba Covid-19 bonna balwagiddwa okuddayo mu nsi zaabwe.

Kati no, Dr. Musenero agamba nti newankubadde okwambala masiki kwabuwaze, abalwadde ba Asima n’abo abalina alaje, balina okwebuuza ku basawo nga tebanazambala.

Agamba nti waliwo ekika kya balwadde abalina okusigala awaka ku muggalo nga tebasobola kutambula na masiki olw’embeera gye balimu.

Mungeri y’emu alabudde abazadde obutagezaako wadde kwambaza baana abato masiki abali wansi w’emyaka 6 kuba kiyinza okubalemesa okussa.