Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abikira Obuganda okufa kwa Muzeeyi Dan Kamaanyi omuzira eyasomosa Ssekabaka Muteesa II okumutuusa e Mawogola nga 24 May 1966 Apollo Milton Obote lweyalumba Olubiri. Omuzira Dan Kamaanyi yeyavuga Ssekabaka Muteesa II okumujja ku Lutikko e Lubaga okutuuka e Mawogola. Eno Ssekabaka Muteesa II yasangayo basajjabe okuli Mumiransanafu Ssebasitian Kitayimbwa […]
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abikira Obuganda okufa kwa Muzeeyi Dan Kamaanyi omuzira eyasomosa Ssekabaka Muteesa II okumutuusa e Mawogola nga 24 May 1966 Apollo Milton Obote lweyalumba Olubiri.
Omuzira Dan Kamaanyi yeyavuga Ssekabaka Muteesa II okumujja ku Lutikko e Lubaga okutuuka e Mawogola. Eno Ssekabaka Muteesa II yasangayo basajjabe okuli Mumiransanafu Ssebasitian Kitayimbwa eyali Omwami w’essaza ly’e Mawogola, wano webasinziira okukola enteekateeka okufulumya Muteesa II Uganda okutuuka e Bungereza.
Kamaanyi eyali omuvubuka atawena ebiseera ebyo, yaluka olukwe ne banne beesasulize ku eyali Pulezidenti Milton Obote olw’okulumba olubiri e Mmengo. Mu 1966, Kamaanyi ne banne babiri baateega Obote awo ku Silver Springs e Kampala ku luguudo oludda e Luzira nga bategese kumussa masasi.
Katikkiro Mayiga agambye nti mu luyimba lw’EKitiibwa kya Buganda mu kitundu kya “Abazira ennyo abaatusooka balwana nnyo mu ntalo”, lutuukira bulungi ku Kamaanyi kubanga Olugendo lw’okuzza Buganda ku Ntikko lwetaaga abantu abamalirivu, abatekkiriranya, ab’emmizi, era abeesigwa.
Gusinze ayi Ssaabasajja Kabaka.