174SharesAkakiiko k’ebyokulonda katwaliddwa mu kkooti nkulu mu Kampala lwa kuwera enkungaana, ku bantu abagenda okwesimbawo mu kulonda kwa 2021. Sabiti eno, Ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi omutendeke Simon Byabakama, yafulumizza entekateeka y’okulonda abakulembeze mu ggwanga. Ku ntekateeka eyalangiriddwa, bannansi baakulonda abakulembeze baabwe wakati wa 10, January, 2021 ne 8th February, 2021. Byabakama agamba nti ku mulundi […]
Akakiiko k’ebyokulonda katwaliddwa mu kkooti nkulu mu Kampala lwa kuwera enkungaana, ku bantu abagenda okwesimbawo mu kulonda kwa 2021.
Sabiti eno, Ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi omutendeke Simon Byabakama, yafulumizza entekateeka y’okulonda abakulembeze mu ggwanga.
Ku ntekateeka eyalangiriddwa, bannansi baakulonda abakulembeze baabwe wakati wa 10, January, 2021 ne 8th February, 2021.
Byabakama agamba nti ku mulundi gunno, teri kuba nkungaana za Kampeyini wabula buli muntu yenna agenda okwesimbawo, alina kweyambisa Ttiivi, Laadiyo n’emikutu migatta bantu okunoonya akalulu nga kikoleddwa okutangira Kolona okusasaana.
Abegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga, bakuwandisibwa okuva nga 2 okutuusa nga 3, November, 2020 ate obukiise bwa Palamenti okuva nga 12 okutuusa 14, October, 2020.
Mu ntekateeka efulumiziddwa, abakozi ba Gavumenti bonna abesuunga okwesimbawo okukiika mu Palamenti balina okulekulira obutasukka nga 12, Ogwomusanvu, 2020.
Wabula enkya ya leero munnamawulire ate nga Pasita Joseph Kabuleta addukidde mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya ebyalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda.
Kabuleta ng’akulembeddwamu munnamateeka we Daniel Walyemera, agamba nti okulemesa okuba enkungana, kigendereddwamu okulemesa bannayuganda okufuna okulonda okw’amazina n’obwenkanya.
Mungeri y’emu agambye nti ebyalangiriddwa mu ntekateeka bikyamu ddala era kkooti esanidde okubiyimiriza kuba n’ensi okuli Malawi ne Burundi zikubye Kampeyini wakati mu kulwanyisa Kolona.
Kabuleta wakubiri okuddukira mu kkooti, oluvanyuma lwa Dr. Emmanuel Diini Kisembo naye okuddukira mu kkooti ng’awakanya entekateeka y’em.