BAMBI! Poliisi ekutte abatunda essanyu ly’abasajja mu Kampala, babadde balinze ‘Live Wire’ okufuna ssente

©GALAXY

Poliisi etandiise okunoonyereza ku bakyala abaakwattiddwa abagambibwa okubeera bamalaaya mu Kampala, abatunda omukwano mu kiseera kino ekya Kalantini. Abakyala 9 baasangiddwa ku William Street okumpi ne Top Pub mu Kampala ku lunnaku Olwomukaaga mu kikwekweto ekyakulembeddwamu Poliisi ne LDU. Ivan Nduhura , akulira ebikwekweto bya poliisi ku CPS mu Kampala agamba nti ekikwekweto kyakoleddwa ku […]


Poliisi etandiise okunoonyereza ku bakyala abaakwattiddwa abagambibwa okubeera bamalaaya mu Kampala, abatunda omukwano mu kiseera kino ekya Kalantini.

Abakyala 9 baasangiddwa ku William Street okumpi ne Top Pub mu Kampala ku lunnaku Olwomukaaga mu kikwekweto ekyakulembeddwamu Poliisi ne LDU.

Ivan Nduhura , akulira ebikwekweto bya poliisi ku CPS mu Kampala agamba nti ekikwekweto kyakoleddwa ku loogi oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti abaziddukanya bwe baziggulawo mu bubba naddala emisana ne bakkiriza bamalaaya okutwalayo abasajja ekintu ekimenya amateeka nebiragiro by’omukulembeze weggwanga ku nsonga y’okulwanyisa Kolona.