Rajabu Abdul Kahali amanyikiddwa ng’ omuyimbi Harmonize alese bangi ku bawagizi be nga basobeddwa nga bebuuza ebibuuzo eby’enjawulo ku nkolagana wakati we n’omuwala Nicole Berry. Berry amanyikiddwa ng’omuwala omulungi eyeegulidde erinnya ku by’okulabikira mu vidiyo z’abayimbi ez’enjawulo omuli ne Harmonize. Waliwo ebifaananyi ebyafulumye nga Harmonize ali ne Berry ku buliri, nga bekutte mu ngeri ey’enjawulo, […]
Rajabu Abdul Kahali amanyikiddwa ng’ omuyimbi Harmonize alese bangi ku bawagizi be nga basobeddwa nga bebuuza ebibuuzo eby’enjawulo ku nkolagana wakati we n’omuwala Nicole Berry.
Berry amanyikiddwa ng’omuwala omulungi eyeegulidde erinnya ku by’okulabikira mu vidiyo z’abayimbi ez’enjawulo omuli ne Harmonize.
Waliwo ebifaananyi ebyafulumye nga Harmonize ali ne Berry ku buliri, nga bekutte mu ngeri ey’enjawulo, ekyareseewo okutya nti ayinza okuba muganzi we.
Harmonize asobodde okwanukula abawagizi be ne mukyala we Queen Sarah nti yabadde akwata vidiyo ya luyimba, tewali kya maanyi wakati we ne Berry.
Mu Tanzania, Harmonize y’omu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba kyokka wadde yayawukana ne Diamond Platnumz, mu kuyimba ebintu bitambula bulungi.