Abakise ba Palamenti bawanjagidde Gavumenti okuvaayo ne ntekateeka ku bodaboda, okuddamu okutambuza abantu nga mu kiseera kino, abali mulimu gwa bodaboda tebasobola kwebezaawo wadde okuliisa famire zaabwe. Ekiteeso ku nsonga ya bodaboda, kyanjuddwa mu Palamenti akawungeezi ka leero Latif Ssebagala, omubaka akikirira abantu b’e Kawempe North era agambye nti kyetaagisa okuteekawo enkola eyamazima n’obwenkanya nga […]
Abakise ba Palamenti bawanjagidde Gavumenti okuvaayo ne ntekateeka ku bodaboda, okuddamu okutambuza abantu nga mu kiseera kino, abali mulimu gwa bodaboda tebasobola kwebezaawo wadde okuliisa famire zaabwe.
Ekiteeso ku nsonga ya bodaboda, kyanjuddwa mu Palamenti akawungeezi ka leero Latif Ssebagala, omubaka akikirira abantu b’e Kawempe North era agambye nti kyetaagisa okuteekawo enkola eyamazima n’obwenkanya nga kiswaza abamu ku bannayuganda okubakkiriza okudda ku mirimu ate bodaboda nga tezikkirizibwa.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, agamba nti bodaboda zitambula nnyo nga okuzikkiriza okutambuza abantu, zigenda kutambuza Covid-19 era mu kiseera kino, zikkirizibwa kutambuza bitereke byokka.
Kati no Ssebaggala agamba nti okulemesa bodaboda, bangi ku bazivuga basula njala nga tebalina kyakuliisa famire zaabwe ate nga n’omukulembeze w’eggwanga akyagaanye okubakkiriza okudda ku mirimu.
Ate Nampala w’oludda oluvuganya era omubaka we Kiira, Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti Gavumenti erina okuvaayo okuyamba abantu abali ku muggalo nga tebannaba kwekyawa okutuusa okufa olw’enjala.
Ku nsonga eyo, sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga naye atabukidde Gavumenti n’abagiwa ebirowoozo, okutambuza eggwanga nga basinzira ku bigenda maaso mu Kampala.
Kadaga agamba nti mu Uganda, bingi ku bitundu nga bodaboda y’entambula yokka ekozesebwa, nga eky’okulemesa bodaboda okutambuza abantu, bangi ku batuuze mu bitundu ebyo, basigadde basobeddwa, eky’okuzaako.
Ku nsonga ya bodaboda, Minisita w’ebyemirimu n’entambula Gen. Katumba Wamala agambye nti Gavumenti eri mu kwekeneenya eri bodaboda, gye zirina okuddamu okutambuza abantu nga tewali kukya ku nsonga y’okutambuza obulwadde.
Palamenti ekkiriziganyizza okuyita Ssaabaminisita Dr.Ruhakana Rugunda okulaga pulaani ya Gavumenti eya Bodaboda, okuddamu okutambuza abantu.
Eddoboozi lya Kadaga