Uganda, ezudde abantu abalala 23 nga balina Covid-19 kw’abo 2,219 abaakebeddwa olunnaku olw’eggulo ne baweza omuwendo balwadde 797. Ku balwadde, 5 baddereeva nga 3 bavudde mu ggwanga erya Kenya ku nsalo y’e Malaba ate 2 South Sudan ku nsalo y’e Elegu. Ate 18 kigambibwa baaliko n’abantu abalwadde nga 10 bazuuliddwa mu Kalantini e Tororo, 3 […]
Uganda, ezudde abantu abalala 23 nga balina Covid-19 kw’abo 2,219 abaakebeddwa olunnaku olw’eggulo ne baweza omuwendo balwadde 797.
Ku balwadde, 5 baddereeva nga 3 bavudde mu ggwanga erya Kenya ku nsalo y’e Malaba ate 2 South Sudan ku nsalo y’e Elegu.
Ate 18 kigambibwa baaliko n’abantu abalwadde nga 10 bazuuliddwa mu Kalantini e Tororo, 3 mu disitulikiti y’e Amuru, 4 Kyotera nga n’omulala omu, yazuuliddwa mu Kalantini mu disitulikiti y’e Yumbe.
Okusinzira ku Dr. Henry Mwebesa, akulira eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu, Uganda mu kiseera kino yakasiibula abantu 699 nga bajanjabiddwa Kolona.
Ate baddereeva 13 abazuuliddwa nga balwadde okuli bannansi okuli bannansi ba Kenya 8, Tanzania 2, Burundi 1, Rwanda 1 ne Eritea 1 bonna baziddwayo mu nsi zaabwe.