OBWAVU! Omuvubuka yewaanye ku by’okutta Omusuubuzi lwa shs 20,000 e Jinja, Poliisi emukutte abitebye

©GALAXY

Kyaddaki omusajja eyakwattiddwa ku misango gy’okutta omusuubuzi Abdallah Nabuguzi, akirizza omusango gw’obutemu. Omusuubuzi Nabuguzi myaka 56 yasangibwa ng’attiddwa sabiti ewedde ku Lwokuna nga 18, June, 2020 mu nnyumba ku kyalo Muvule mu ggombolola y’e Jinja Central mu Monisipaali y’e Jinja. Omulambo gwazuulibwa nga gusaliddwa ekiso mu bulago era amangu ddala Poliisi, kwekutandiika okunoonyereza. Ku lunnaku […]


Kyaddaki omusajja eyakwattiddwa ku misango gy’okutta omusuubuzi Abdallah Nabuguzi, akirizza omusango gw’obutemu.

Omusuubuzi Nabuguzi myaka 56 yasangibwa ng’attiddwa sabiti ewedde ku Lwokuna nga 18, June, 2020 mu nnyumba ku kyalo Muvule mu ggombolola y’e Jinja Central mu Monisipaali y’e Jinja.

Omulambo gwazuulibwa nga gusaliddwa ekiso mu bulago era amangu ddala Poliisi, kwekutandiika okunoonyereza.

Ku lunnaku Olwomukaaga nga 20, June, 2020, Poliisi yakutte George Moses Mutekanga myaka 22 okuva mu disitulikiti y’e Iganga era mu kiseera kino akuumibwa ku Poliisi e Jinja.

Ku Poliisi, Mutekanga awuniinkirizza abasirikale bw’ategeezeza nti yatta Nabuguzi lwa shs 20,000.

Agamba nti sabiti ewedde ku Lwokusatu nga 17, June, 2020, Nabuguzi yamuwa omulimu okusunsulamu emiyembe ku shs 25,000 kyokka oluvanyuma lw’omulimu, yamuwako ssente shs 5,000.

Agamba nti yamulumba mu kifo mwasula, okumuwa balansi shs 20,000 nga yetaaga eky’okulya nga tazirina, olw’obusungu, nakwata akambe namusala obulago.

Amangu ddala, yakwala ebintu by’omugenzi (Nabuguzi) omuli essimu gye yatuunda mu Kampala ssente shs 15,000, engato 10,000, ensawo 10,000 oluvanyuma kwe kuddukira Iganga yekweke, gye yasangiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira Abbey Ngako, Mutekanga akirizza omusango gw’okutta omusuubuzi Nabuguzi era ssaawa yonna bamutwala mu kkooti.