TUKOOYE EJOOGO! Muteese mugonjoole ensonga, aba famire z’abantu abaafiira mu Kalani e Kansanga balemeddeko, ‘twagala ssente’, Omulamuzi awabudde

©GALAXY

Omulamuzi wa Kkooti e Makindye Edith Mbabazi awadde amagezi famire z’abantu 13 abaafiirwa abantu baabwe mu kizimbe ekyaggwa ne kitta abantu e Kansanga mu Kiwempe nga 9, omwezi oguwedde Ogwokutaano, okweyambisa okuteesa okumala ensonga bwe kiba kisoboka. Ab’oluganda lw’abantu abaafa, baddukira mu kkooti  bagala okubasasula nga betaaga ssente ku lwa bantu baabwe abattibwa okulabirira bamulekwa […]


Omulamuzi wa Kkooti e Makindye Edith Mbabazi awadde amagezi famire z’abantu 13 abaafiirwa abantu baabwe mu kizimbe ekyaggwa ne kitta abantu e Kansanga mu Kiwempe nga 9, omwezi oguwedde Ogwokutaano, okweyambisa okuteesa okumala ensonga bwe kiba kisoboka.

Ab’oluganda lw’abantu abaafa, baddukira mu kkooti  bagala okubasasula nga betaaga ssente ku lwa bantu baabwe abattibwa okulabirira bamulekwa ssaako ne bannamwandu.

Mu kkooti, Omulamuzi  agambye nti bagende mu maaso n’okuteesa ssaako n’okugonjoola ensonga zonna era omusango agwongezaayo okutuusa nga 5, Ogwomunaana, 2020.

Oluvudde mu kkooti, munnamateeka w’oludda oluwawabirwa Antony Wameri, agambye nti alina esuubi nti nga bayita mu kuteesa, ensonga zakugwera bweru wa kkooti.

Kalina eyaggwa n’etta abantu, ya mugagga Abraham Kalanzi eyakwattibwa ne Yinginiya Christoper Bandi Ruhambya eyali ku kizimbe ne baggulwako emisango mu kkooti 19 omuli okuzimba nga tebalina lukusa ekyavirako abantu okufa.

Omugagga Kalanzi ne Yinginiya Bandi kkooti yabakkirizza okweyimirirwa era bonna basibuka maka gaabwe ogenda mu kkooti.