Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde yefuula omusawo okuva ku ddwaaliro ekkulu e Mulago ng’emirimu gye, agitambuliza ku ddwaaliro e Kawempe. Acleo Byamukama yakwattiddwa enkya ya leero, akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva maka g’omukulembeze w’eggwanga. Abakakiiko, bagamba nti abalwadde baludde nga bemulugunya ku musajja abaggyako ssente ssaako n’okubasindika ebweru w’eddwaaliro okufuna eddagala. Okumukwata, basobodde okweyambisa […]
Poliisi mu Kampala ekutte omusajja abadde yefuula omusawo okuva ku ddwaaliro ekkulu e Mulago ng’emirimu gye, agitambuliza ku ddwaaliro e Kawempe.
Acleo Byamukama yakwattiddwa enkya ya leero, akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva maka g’omukulembeze w’eggwanga.
Abakakiiko, bagamba nti abalwadde baludde nga bemulugunya ku musajja abaggyako ssente ssaako n’okubasindika ebweru w’eddwaaliro okufuna eddagala.
Okumukwata, basobodde okweyambisa essimu ye, okumulondoola okutuusa lw’akwattiddwa nga yakatuuka ku ddwaaliro e Kawempe.
Ku ddwaaliro e Kawempe, abadde alina akasenge mwatwala abalwadde, asangiddwa n’ebiwandiiko ebiraga abalwadde ab’enjawulo ssaako ne kaadi z’emirimu eziraga ye Dr. Acleo Byamukama, kwasinzira okubba abantu.
Omu ku bakuumi agaanye okwatuukiriza erinnya lye ku ddwaaliro e Kawempe agambye nti Byamukama y’omu ku bantu abangi, abefuula nti basawo n’okuwandikira abalwadde eddagala ery’okuteebereza.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agambye nti Byamukama akwattiddwa era Poliisi etandiise okumunoonyerezaako.