AUDIO! Jjajja asobeza ku muzzukulu we myaka 9, amuyuzizza ebitundu by’ekyama, omwana ali mu maziga

©GALAXY

117SharesPoliisi e Kayunga eriko ssemaka atemeza mu gy’obukulu 50 nga mutuuze ku kyalo Kisagazi mu ggombolola ye Kayunga mu disitulikiti ye Kayunga gwekutte ku misango gy’okusobya ku muzzukulu we myaka 9. Ssemaka Ssentongo Ahmad nga mutunzi wa ngatto ku kyalo yayise omuzzukulu mu nnyumba era weyafulumidde nga yenna atonnya musaayi, basenga b’omwana bagenze okumwekebejja nga […]


Poliisi e Kayunga eriko ssemaka atemeza mu gy’obukulu 50 nga mutuuze ku kyalo Kisagazi mu ggombolola ye Kayunga mu disitulikiti ye Kayunga gwekutte ku misango gy’okusobya ku muzzukulu we myaka 9.

Ssemaka Ssentongo Ahmad nga mutunzi wa ngatto ku kyalo yayise omuzzukulu mu nnyumba era weyafulumidde nga yenna atonnya musaayi, basenga b’omwana bagenze okumwekebejja nga yenna akulukuta musaayi okuva mu bitundu by’ekyama ssaako n’okulukusa amaziga.

Omwana agamba nti jjajjaawe yamusuubiza okumutta singa akuba enduulu era bwatyo yamulagidde okugyamu akapale k’omunda ng’amukanulidde amaaso.

Oluvanyuma lw’okusobezebwako, omwana okufuyisa ssaako ogenda emmanju, akuba miranga.

Abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebbe w’ekyalo David Lutaaya, bagamba nti Ssemaka Ssentongo abadde yegumbulidde okudda ku baana abato okubasobyako era basabye Poliisi ku mulundi guno, okumuggya mu bantu awangalire mu kkomera.

Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa Hellen Butoto agambye nti Ssentongo bamutwala mu kkooti essaawa yonna ku musango gw’okujjula ebitanajja.

Eddoboozi lya Butoto