AUDIO! Waaya yekyangidde ku musajja mu kiro, asaze mukazi we obulago bw’amulemesezza okugikwatako emirundi 4

©GALAXY

Poliisi y’e Jinja ekutte omusajja ku misango gy’okusala muganzi we obulago nga busasaana enkya ya leero. Jackson Otimango myaka 26 nga mutuuze ku kyalo Walukuba west mu Monisipaali y’e Jinja yakwattiddwa oluvanyuma lw’okusala kabiite we Jeralyne Okurut, obulago. Okusinzira ku batuuze, Otimango ne muganzi we baludde nga balina obutakaanya era ng’omukyala yagaanira ddala okuddamu okwerigomba […]


Poliisi y’e Jinja ekutte omusajja ku misango gy’okusala muganzi we obulago nga busasaana enkya ya leero.

Jackson Otimango myaka 26 nga mutuuze ku kyalo Walukuba west mu Monisipaali y’e Jinja yakwattiddwa oluvanyuma lw’okusala kabiite we Jeralyne Okurut, obulago.

Okusinzira ku batuuze, Otimango ne muganzi we baludde nga balina obutakaanya era ng’omukyala yagaanira ddala okuddamu okwerigomba ne bba.

Wabula omukyala Okurut agamba nti ku ssaawa nga 7 ez’ekiro, Otimango yatuuse awaka we, naamukiriza okuyingira mu nnyumba ssaako n’okwebaka nga tamuwadde nsonga yonna kyokka ku ssaawa nga 10 ez’ekiro, yamuzuukusizza mu tulo, okuteesa ku butakaanya wakati we ssaako n’okumusaba akaboozi.

Omukyala agamba nti yabadde akyabirowozaako, Otimango yavudde mu mbeera era yakutte akambe namusala obulago, kwekudduka ng’alowooza amaze okumutta.

Omukyala Okurut agamba nti baneyiba, bebasobodde okumutaasa okumutwala mu ddwaaliro ekkulu e Jinja nga yenna atonnya musaayi.

Eddoboozi lya Okurut

Enkya ya leero, omusajja Otimango akedde mu ddwaaliro, okutegeeza kabiite we, ensonga zaabwe obutaziyingizaamu poliisi kuba akyamwetaaga mu bulamu bwe.

Poliisi esobodde okumunoonya era akwattiddwa ku misango gy’okwagala okutta omuntu.

Wabula ku Poliisi Otimango agambye nti Okurut yakutte akambe okwetta lw’ebbuba, ng’amuteebereza okuganza abakyala ab’enjawulo era olw’okutya, kwekudduka nga busasaana enkya ya leero.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira Abby Ngako agambye nti okunoonyereza kutandikiddewo mbagirawo.