BAMBI! Taata atimpudde baana emiggo lwa shs 5,000 ez’amata, obubina buvunze, akwattiddwa

©GALAXY

Poliisi y’e Kiryandongo ekutte taata ku misango gy’okutulugunya abaana be. Taata akwattiddwa (amannya gasirikiddwa) kansala w’abavubuka mu Tawuni Kanso y’e Bweyale mu disitulikiti y’e Kiryandongo ku by’okukuba bawala be kibooko ne bafuna amabwa ku kabina. Kigambibwa abaana basudde ssente shs 5000 ez’okugula amata bewola ku musomesa waabwe shs 5,000 okufuna amata. Abatuuze, basobodde okuyamba abaana […]


Poliisi y’e Kiryandongo ekutte taata ku misango gy’okutulugunya abaana be.

Taata akwattiddwa (amannya gasirikiddwa) kansala w’abavubuka mu Tawuni Kanso y’e Bweyale mu disitulikiti y’e Kiryandongo ku by’okukuba bawala be kibooko ne bafuna amabwa ku kabina.

Kigambibwa abaana basudde ssente shs 5000 ez’okugula amata bewola ku musomesa waabwe shs 5,000 okufuna amata.

Abatuuze, basobodde okuyamba abaana okuyita abakulembeze ku kyalo ssaako ne Poliisi oluvanyuma lwa baana okutandiika okuvunda akabina nga kitaawe tafaayo.

Taata mu kiseera kino atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kiryandongo ku misango gy’okutulugunya abaana.