Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano, alambuludde ebimu ku bintu, ebiyinza okuvako abasajja oba abakyala okwetamwa akaboozi mu mbeera yonna. Mu kiseera kino ng’abantu abamu bali ku muggalo olwa Covid-19, Ssenga Kawomera agamba nti waliwo ebintu bingi nnyo, ebiyinza okuvaako muganzi wo, okwetamwa akaboozi wadde oli mulungi nnyo. Ssenga Kawomera agamba nti Obwavu, Obwenzi, obucaafu […]
Ssenga Kawomera omukugu mu nsonga z’omukwano, alambuludde ebimu ku bintu, ebiyinza okuvako abasajja oba abakyala okwetamwa akaboozi mu mbeera yonna.
Mu kiseera kino ng’abantu abamu bali ku muggalo olwa Covid-19, Ssenga Kawomera agamba nti waliwo ebintu bingi nnyo, ebiyinza okuvaako muganzi wo, okwetamwa akaboozi wadde oli mulungi nnyo.
Ssenga Kawomera agamba nti Obwavu, Obwenzi, obucaafu n’obulwadde, biyinza okuvaako omusajja yenna oba omukyala okwetamwa akaboozi.
Mungeri y’emu Ssenga agamba nti omukyala oba omusajja ssinga abaako aliko ekyamunyiizizza n’ebirowoozo ebisukkiridde oba situleesi, ayinza okulemwa okusanyusa munne mu kisenge, ekiyinza okuvaako amaka okufa.