AUDIO! Wuuno omwana myaka 3 ali mu maziga oluvanyuma lw’omusajja okumusobyako, yenna atonnya musaayi mu bitundu by’ekyama

©GALAXY

Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja Balemezi Luke myaka 25 omwoki w’amanda nga mutuuze ku kyalo Ntalagi mu Tawunu Kanso y’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba, ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 3. Kigambibwa jjaajja Nabakoozi Maria yalese abazzukkulu awaka ku ssaawa nga 12 ez’okumakya bwe yabadde agenda mu nimiro okuli myaka 3 n’emyaka 5 wabula […]


Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja Balemezi Luke myaka 25 omwoki w’amanda nga mutuuze ku kyalo Ntalagi mu Tawunu Kanso y’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba, ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 3.
Kigambibwa jjaajja Nabakoozi Maria yalese abazzukkulu awaka ku ssaawa nga 12 ez’okumakya bwe yabadde agenda mu nimiro okuli myaka 3 n’emyaka 5 wabula Balemezi yakutteko omuzzukkulu omuto myaka 3 namutwala mu nju ye, namusobyako.
Jjajja bwe yakomeddewo ku ssaawa 2 ez’okumakya, omuzzukkulu yasangiddwa mu maziga nga yenna atonnya musaayi.
Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti Balemezi akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Mungeri y’emu akuutidde abazadde okwongera amaanyi ku nsonga y’okunyweza ebyokwerinda ku baana abato.

Eddoboozi lya Enanga