Poliisi mu Kampala ekutte abasirikale 2 okuva mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya SGA security guards ku misango gy’okubba emmundu. Abakwattiddwa kuliko Ambrose Asasira ne Ivan Elulu. Abakwate, bagamba nti baalumbiddwa abazigu 4 nga bakutte ebijambiya ku ssaawa nga 9 ez’ekiro, ekikeeseza olwaleero ku Lwokusatu ku ‘Salaama petrol station’ ku kyalo Namungoona mu Divizoni y’e Rubaga […]
Poliisi mu Kampala ekutte abasirikale 2 okuva mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya SGA security guards ku misango gy’okubba emmundu.
Abakwattiddwa kuliko Ambrose Asasira ne Ivan Elulu.
Abakwate, bagamba nti baalumbiddwa abazigu 4 nga bakutte ebijambiya ku ssaawa nga 9 ez’ekiro, ekikeeseza olwaleero ku Lwokusatu ku ‘Salaama petrol station’ ku kyalo Namungoona mu Divizoni y’e Rubaga mu Kampala ne batwala emmundu yabwe olw’okutya okubatusaako obulabe.
Ku Poliisi ya Kampala mukadde, Asasira agamba nti abazigu baamulumbye ne basala ekisipi ky’emmundu ye era ne bagitwala nga bali mu kammotoka akatono.
Wabula, Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti abakwate, bagenda kubayambako okunoonyereza abazigu, abagambibwa nti baatutte emmundu.
Agamba nti Asasira yeyabadde akutte emmundu nga yabaddemu amasasi 3.
Eddoboozi lya Luke