AUDIO! Omusajja asobezza ku mukyala w’olubuto namutta lwa kugaana kumuzaalira, yetonze ‘sitaani yankemye’

©GALAXY

Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja eyayingiridde eyali mukyala we namusobyako oluvanyuma namutta mu disitulikiti y’e Mukono. Okusinzira ku Poliisi, sabiti ewedde akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga omusajja Mukisa Isaac yasoberera eyali mukyala Maiga Sarah myaka 30 ku kizinga kye Maala mu ggoombolola y’e Kome mu disitulikiti y’e Mukono, namusobyako. Omukyala yali lubuto myezi 4 kyokka oluvanyuma lw’okumusobyako, yamutuga […]


Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja eyayingiridde eyali mukyala we namusobyako oluvanyuma namutta mu disitulikiti y’e Mukono.

Okusinzira ku Poliisi, sabiti ewedde akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga omusajja Mukisa Isaac yasoberera eyali mukyala Maiga Sarah myaka 30 ku kizinga kye Maala mu ggoombolola y’e Kome mu disitulikiti y’e Mukono, namusobyako.

Omukyala yali lubuto myezi 4 kyokka oluvanyuma lw’okumusobyako, yamutuga namutta, ennyumba, nagikumako omuliro, omulambo nagwokya.

Okuva sabiti ewedde omusajja abadde aliira ku nsiko wabula kyaddaki Poliisi emukutte ku misango gy’okutta omuntu.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agambye nti Mukisa, abatuuze bamulaba ng’adduka oluvanyuma lw’okuteekera enju omuliro, ekibanguyidde okumukwata.

Eddoboozi lya Enanga