GIWUNYE! Omubaka Ida Nantaba akooye akamanyiro, alagidde Poliisi nekwata Omuyimbi lwa Zaake – Vidiyo

©GALAXY

1.8KSharesPoliisi ekutte omuyimbi wa Kadongokamu Gerald Kiwewa oluvanyuma lw’omubaka omukyala owe Kayunga Ida Erios Nantaba myaka 40 eyaliko Minisita omubeezi ow’ebyempuliziganya, kompyuta ne tekinologiya okuloopa omusango eri kitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) nti yavumiddwa mu luyimba. Ku Poliisi, Nantaba agamba nti Kiwewa yakubye oluyimba “Nantaba” nga mulimu ebigambo ebimulumbagana n’okwonoona erinnya lye. […]


Poliisi ekutte omuyimbi wa Kadongokamu Gerald Kiwewa oluvanyuma lw’omubaka omukyala owe Kayunga Ida Erios Nantaba myaka 40 eyaliko Minisita omubeezi ow’ebyempuliziganya, kompyuta ne tekinologiya okuloopa omusango eri kitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) nti yavumiddwa mu luyimba.

Gerald Kiwewa
Gerald Kiwewa

Ku Poliisi, Nantaba agamba nti Kiwewa yakubye oluyimba “Nantaba” nga mulimu ebigambo ebimulumbagana n’okwonoona erinnya lye.

Oluvanyuma lwa Nantaba okukola sitetimenti numba GEF 442/2020 ku kitebe kya CID e Kibuli, Poliisi esitukiddemu n’ekwata omuyimbi Kiwewa okuva mu makaage e Maganjo mu disitulikiti y’e Wakiso.

Patrick Onyango
Patrick Onyango

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Superintendent of Police -SP, Patrick Onyango, akakasizza okukwattibwa kwa Kiwewa era atwaliddwa ku kitebe kya CID okwewozaako.

Mu luyimba “Nantaba”, Kiwewa agamba nti Nantaba alina okwesonyiwa Zaake kuba y’emu ku nsonga lwaki akubwa nnyo.

Onyango agamba nti omubaka Nantaba agamba nti oluyimba lwa Kiwewa era lugendereddwamu n’okusiiga obukyayi mu bantu.

Vidiyo y’oluyimba Nantaba