AUDIO! Ssemaka akwattiddwa ng’ali mu kaboozi ne neyiba, omusinde gwa waaya mu bwaguuga bwa vuvuzera gutabudde mukyala we

©GALAXY

Poliisi ekutte abantu 3 ku misango gy’okutta omuntu oluvanyuma lw’omuliro okumwokyera mu nnyumba ku kizinga kye Koome mu disitulikiti y’e Mukono. Okusinzira ku Poliisi, ku ssaawa nga 9 ez’ekiro, omukyala Aisha Namutebi yatabukidde bba Abdul Rashid Kaniga  ne balwanagana , oluvanyuma lw’okumusanga ng’ali mu kaboozi n’omukyala omulala Sarah Kaliba omutuuze ku kyalo kye kimu. Oluvanyuma […]


Poliisi ekutte abantu 3 ku misango gy’okutta omuntu oluvanyuma lw’omuliro okumwokyera mu nnyumba ku kizinga kye Koome mu disitulikiti y’e Mukono.

Okusinzira ku Poliisi, ku ssaawa nga 9 ez’ekiro, omukyala Aisha Namutebi yatabukidde bba Abdul Rashid Kaniga  ne balwanagana , oluvanyuma lw’okumusanga ng’ali mu kaboozi n’omukyala omulala Sarah Kaliba omutuuze ku kyalo kye kimu.

Oluvanyuma lw’okulwanagana, embeera yatebenkedde kyokka wayise eddakika ntono, omuliro gwakutte ennyumba y’omukyala eyasangiddwa ng’ali mu kaboozi Sarah Kaliba.

Omuliro gwavudde ewa Kaliba nga kigambibwa gwakumiddwa omuntu atamanyiddwa negulumba amayumba amalala era omu ku batuuze Omondi, eyasangiddwa nga yebase, yafiiriddemu.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi n’emirirwano agambye nti Poliisi ekutte Ssemaka omwenzi eyasaangiddwa mu kaboozi Kaniga, omukyala eyabadde amugabula ebyalo Kaliba ssaako n’omukyala Namutebi ayakutte bba ng’ali mu kwesanyusa, babayambeko mu kunoonyereza.

Eddoboozi lya Luke