Kyaddaki Poliisi ekutte ssemaka ku misango gy’okudda ku mwana we myaka 2 namusobyako. Wakasolo Enock yakwattiddwa ku by’okudda ku mwana gwe yezaalira namusobyako mu ggoombolola y’e Buwalasi mu disitulikiti y’e Sironko. Abatuuze bagamba nti Wakasolo yafunye obutakaanya ne mukyala we ku ssaawa nga 10 ez’ekiro, omukyala bwe yagaanye ensonga z’okwegatta era amangu ddala yavudde mu […]
Kyaddaki Poliisi ekutte ssemaka ku misango gy’okudda ku mwana we myaka 2 namusobyako.
Wakasolo Enock yakwattiddwa ku by’okudda ku mwana gwe yezaalira namusobyako mu ggoombolola y’e Buwalasi mu disitulikiti y’e Sironko.
Abatuuze bagamba nti Wakasolo yafunye obutakaanya ne mukyala we ku ssaawa nga 10 ez’ekiro, omukyala bwe yagaanye ensonga z’okwegatta era amangu ddala yavudde mu nnyumba nageenda.
Omukyala olwafulumye, Wakasolo eyabadde mu mbeera y’okusinda omukwano, kwe kudda ku mwana we myaka 2 namusobyako.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon, Rogers Taitika, Wakasolo abadde aliira ku nsiko wabula kyaddaki Poliisi emukutte ku misango gy’okusobya ku mwana omuto era okunoonyereza kutandikiddewo.
Eddoboozi lya Taitika