FFE TULIKO! Ow’amakudde aleese amaanyi, ayagala kya Mubaka Omukyala mu Palamenti okulwanirira abanene

©GALAXY

90SharesOmukyala Anne Mungoma avuddeyo okwesimbawo, okugenda mu Palamenti okutwala ensonga z’abakyala. Mungoma yesowoddeyo ayagala kya Mubaka Omukyala owa Manafwa mu kulonda kwa 2021. Agamba nti abadde alina okuvaayo okuyambako okulwanirira eddembe ly’abakyala mu disitulikiti y’e Manafwa n’okuyimusa embeera zaabwe. Abajjukira empaka za Miss Curvy mu Uganda omwaka oguwedde ogwa 2019, Mungoma ye mukyala eyazireeta mu […]


Omukyala Anne Mungoma avuddeyo okwesimbawo, okugenda mu Palamenti okutwala ensonga z’abakyala.

Mungoma yesowoddeyo ayagala kya Mubaka Omukyala owa Manafwa mu kulonda kwa 2021.

Agamba nti abadde alina okuvaayo okuyambako okulwanirira eddembe ly’abakyala mu disitulikiti y’e Manafwa n’okuyimusa embeera zaabwe.

Abajjukira empaka za Miss Curvy mu Uganda omwaka oguwedde ogwa 2019, Mungoma ye mukyala eyazireeta mu Uganda era agamba nti singa atuuka mu Palamenti, agenda kuyamba nnyo abakyala okukyusa embeera zaabwe.