Poliisi eri kusamba nsiko okunoonya omusajja eyatemyako omuwala omukono bwe yagaanye okumufumbirwa. Omuwala ali mu gy’obukulu 16 ng’ali mu S2 nga mutuuze ku kyalo Nabooti mu ggoombolola y’e Nakatsi mu disitulikiti y’e Bududa, yatemeddwa ebijambiya era asindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mbale ng’ali mu mbeera mbi nga yatemeddwako Omukono gwa ddyo. Omuwala ng’asangiddwa mu ddwaaliro […]
Poliisi eri kusamba nsiko okunoonya omusajja eyatemyako omuwala omukono bwe yagaanye okumufumbirwa.
Omuwala ali mu gy’obukulu 16 ng’ali mu S2 nga mutuuze ku kyalo Nabooti mu ggoombolola y’e Nakatsi mu disitulikiti y’e Bududa, yatemeddwa ebijambiya era asindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mbale ng’ali mu mbeera mbi nga yatemeddwako Omukono gwa ddyo.
Omuwala ng’asangiddwa mu ddwaaliro e Mbale, agambye nti omusajja abadde akulungudde ebbanga ng’amukwana kyokka olw’agaanye, yamuteeze mu kkubo namutemako omukono.
Wakati mu kulukusa amaziga nga yenna ajjudde omusaayi, yatwaliddwa mu kalwaliro akali okumpi gye yagiddwa okumusindika mu ddwaaliro ekkulu e Mbale.

Omuwala, agamba nti omusajja aludde nga amulemerako nti mukyala we era abadde amukwanidde ebbanga okuva omwezi ogwokusatu nga basindikiddwa okudda awaka oluvanyuma lw’okuggala amassomero ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19 okusasaana.
Maama w’omwana Juliet Khainza nga naye asangiddwa mu ddwaaliro ng’asobeddwa, awanjagidde ekitongole ekya Poliisi, okunoonya omusajja eyatemye muwala we.
Wabula Jaffar Magyezi, addumira Poliisi mu kitundu ekyo, agambye nti omusajja aliira ku nsiko mu kiseera kino era agumizza famire ku ky’okumunoonya akwattibwe.
Ekifaananyi kya Daily Monitor