AUDIO! Omugagga SK Mbuga aguddwako omusango omukambwe lwa kunyoma Pulezidenti Museveni, ssente zimuzaalidde ebizibu

©GALAXY

Poliisi y’e Kabalagala etandiise okunoonyereza ku bigambibwa nti omugagga Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga yagyemedde ebirabiro by’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eby’okulwanyisa Covid-19. Enkya ya leero, waliwo vidiyo ekedde okusasaanira emikutu migata bantu omuli Face Book, Instagram n’emirala nga kigambibwa SK Mbuga yateeseteese akabaga k’amazaalibwa okujjagulizaako mukyala we Vivian Birungi Mbuga. Vidiyo eraga […]


Poliisi y’e Kabalagala etandiise okunoonyereza ku bigambibwa nti omugagga Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga yagyemedde ebirabiro by’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eby’okulwanyisa Covid-19.

Enkya ya leero, waliwo vidiyo ekedde okusasaanira emikutu migata bantu omuli Face Book, Instagram n’emirala nga kigambibwa SK Mbuga yateeseteese akabaga k’amazaalibwa okujjagulizaako mukyala we Vivian Birungi Mbuga.

Vivian Birungi Mbuga.
Vivian Birungi Mbuga.

Vidiyo eraga nti akabaga kaabaddeko abantu abenjawulo abasukka 50 nga tewali ayambadde Masiki ate nga bakungaanye, ekintu ekiyinza okutambuza obulwadde.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, Mbuga agiddwako Sitetimenti ku Poliisi y’e Kabalagala era aguddwako omusango okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19.

Eddoboozi lya Owoyesigyire