AUDIO! Poliisi ekutte bodaboda 19 lwa mputtu, tewali muzannyo babatwala mu kkomera

©GALAXY

Poliisi mu kibuga kye Kabale ekutte Pikipiki 19 lwa kusangibwa nga zikyakola mu ssaawa za Kafyu ssaako n’okutambuza abantu. Ekikwekweeto kikoleddwa ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, ekikeseza olunnaku olwaleero. Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate bonna abaakwattiddwa bagenda kugibwako fayini, okubalaga nti kimenya mateeka okugyemera ebirabiro, ebiyinza okusasaanya Covid-19. Mungeri […]


Poliisi mu kibuga kye Kabale ekutte Pikipiki 19 lwa kusangibwa nga zikyakola mu ssaawa za Kafyu ssaako n’okutambuza abantu.

Ekikwekweeto kikoleddwa ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, ekikeseza olunnaku olwaleero.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate bonna abaakwattiddwa bagenda kugibwako fayini, okubalaga nti kimenya mateeka okugyemera ebirabiro, ebiyinza okusasaanya Covid-19.

Mungeri y’emu alabudde abalina boda, abatannaba kukwatibwa okwewala okutambula mu ssaawa za Kafyu olw’ebitongole byokwerinda okwongera amaanyi mu kulawuna obudde obw’ekiro.