Poliisi y’e Kitgum ekutte omusajja myaka 25 abadde yefuula munnamaggye wa UPDF. Brian Omara abadde amanyikiddwa nga Vincent Onyang nga mutuuze mu Disitulikiti y’e Abim yakwattiddwa. Omara asangiddwa mu bbaala nga yenna ayambadde ekyambalo ky’amaggye nga yewaana nga bwali omusirikale. Okusinzira ku mwogezi w’amaggye ow’ekibinja eky’okutaano Lt Hassan Kato, okunoonyereza kulaga nti Omara y’omu ku […]
Poliisi y’e Kitgum ekutte omusajja myaka 25 abadde yefuula munnamaggye wa UPDF.
Brian Omara abadde amanyikiddwa nga Vincent Onyang nga mutuuze mu Disitulikiti y’e Abim yakwattiddwa.
Omara asangiddwa mu bbaala nga yenna ayambadde ekyambalo ky’amaggye nga yewaana nga bwali omusirikale.
Okusinzira ku mwogezi w’amaggye ow’ekibinja eky’okutaano Lt Hassan Kato, okunoonyereza kulaga nti Omara y’omu ku babbi, abenyigira mu kubba ekyambalo ky’amaggye okuva ku musirikale waabwe Private Godfrey Onyang omwaka oguwedde ogwa 2019 mu November.
Lt. Kato agamba nti Omara akwattiddwa ku misango gy’okwefuula kyatali era okunoonyereza kutandikiddewo.