1.2KSharesOmu ku baakwattibwa ku by’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi, abikudde ekyama nti waliwo aboongedde okumutisatiisa nga bw’agenda okuttibwa. Kaweesi yattibwa n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne ddereeva we Godfrey Mambewa nga 17, Ogwokusatu, 2017 okumpi n’amakaage e Kulambiro e Nakawa. Oluvanyuma lw’okuttibwa, Poliisi yakwata abantu abasukka 90 wabula mu kiseera […]
Omu ku baakwattibwa ku by’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi, abikudde ekyama nti waliwo aboongedde okumutisatiisa nga bw’agenda okuttibwa.
Kaweesi yattibwa n’omukuumi we Kenneth Erau ssaako ne ddereeva we Godfrey Mambewa nga 17, Ogwokusatu, 2017 okumpi n’amakaage e Kulambiro e Nakawa.
Oluvanyuma lw’okuttibwa, Poliisi yakwata abantu abasukka 90 wabula mu kiseera kino yasigazza abantu 8 omuli Bruhan Balyejusa, Shafiq Kasujja, Yusuf Nyanzi, Jibril Kalyango, Joshua Kyambadde, Yusuf Mugerwa, Abdu Rashid Mbaziira ne Aramathan Higenyi ku misango gy’obutemu n’obubbi.
Wabula Joshua Kyambadde agamba nti afunye abantu ab’enjawulo abamusuubiza okumutta singa ayongera okwegaana emisango gy’okutta Kaweesi ssaako n’abamu okumusuubiza okumuggyako omusango singa akkirizza okubeegattako.
Agamba nti wadde afuna okutiisatisibwa, alina esuubi nti kkooti yakumugyako emisango.
Eddoboozi lya Kyambadde
Kyambadde abadde ku kkooti enkulu mu Kampala ne banne nga basuubira omulamuzi Duncan Gaswagga, okutandiika okuwuliriza emisango gyabwe wabula amyuka ssaabawaabi wa Gavumenti Lino Anguzu, kwekutegeeza nti baalemeddwa okulaga oludda oluwawabirwa obujjulizi obugenda okwesigamwako mu kuwuliriza emisango egyo.
Anguzo agamba nti olw’obutakaanya wakati waabwe ne munnamateeka w’oludda oluwawabirwa Anthony Wameli y’emu ku nsonga lwaki balemeddwa okubalaga ebizibiti ku kitebe kya Poliisi e Naguru omuli emmotoka Kaweesi mwe bamuttira, emmundu eyakozesebwa, Pikipiki abatemu gye baakozesa n’ebirala.
Omulamuzi Gaswagga alabidde oludda oluwaabi okwanguyiriza okulaga bannamateeka b’oludda oluwawabirwa ebizibi era omusango alangiridde okuddamu ku Lwokusatu, sabiti eno nga 19, omwezi guno Ogwomunaana, 2020.