AUDIO! Mwetegeke okudda ku muggalo gwa Covid-19 lwa mputtu, Minisita Gen. Katumba alabudde Bannayuganda

©GALAXY

Minisita w’eggwanga ow’ebyentambula, Gen. Katumba Wamala alabudde nti bannayuganda boolekedde okudda ku muggalo singa tebeddako mu kugyemera amateeka. Gen. Katumba agamba nti aba takisi basukkiridde okumenya amateeka omuli obutambala masiki, okutikka abantu bangi, obutanaaba mu ngalo nga n’omujjuzo kweyongedde mu paaka. Mungeri y’emu atabukidde aba bodaboda, okusaabaza abantu abasukka mw’omu, obutambala masiki mu feesi, obutawandiika […]


Minisita w’eggwanga ow’ebyentambula, Gen. Katumba Wamala alabudde nti bannayuganda boolekedde okudda ku muggalo singa tebeddako mu kugyemera amateeka.
Gen. Katumba agamba nti aba takisi basukkiridde okumenya amateeka omuli obutambala masiki, okutikka abantu bangi, obutanaaba mu ngalo nga n’omujjuzo kweyongedde mu paaka.
Mungeri y’emu atabukidde aba bodaboda, okusaabaza abantu abasukka mw’omu, obutambala masiki mu feesi, obutawandiika basaabaze, ekigenda okwongera okutambuza Covid-19.
Uganda mu kiseera kino yakafuna abalwadde 1,500 nga ne mu Kampala, abazuuliddwa nga balwadde beyongedde obungi era Minisita Katumba agamba nti singa Minisitule y’ebyobulamu egamba nti Covid-19 okusasaana kivudde ku ntambula yalukale omuli Takisi, Bbaasi ne bodaboda, tewali kubusabuusa wabula okuzza abantu ku muggalo.

Minisita Katumba

Mungeri y’emu agambye nti Gavumenti ekoze ogwayo okusomesa bannansi okwewala Covid-19 wabula olw’emputtu ya bannansi kye kigenda okubazza ku muggalo.