AUDIO! Kitatta akomyewo n’amaanyi mu kamyufu ka NRM, awadde ebiragiro ebikambwe eri bannakibiina n’akakiiko k’ebyokulonda

©GALAXY

Ssentebe wa NRM mu Lubaga Hajji Abdullah Kitatta, alabudde abategese, okwenyigira mu kukola effujjo olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano mu Kamyufu k’ekibiina okukyesonyiwa nga tebannaba kukolebwako. Olunnaku olwaleero, Kitatta akomyewo mu offiisi mu butongole bukya ayimbulwa okuva mu kkomera e Luzira gye yakulungula emyaka egisukka mwe 2. Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, Kitatta agambye nti mu kiseera […]


Ssentebe wa NRM mu Lubaga Hajji Abdullah Kitatta, alabudde abategese, okwenyigira mu kukola effujjo olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano mu Kamyufu k’ekibiina okukyesonyiwa nga tebannaba kukolebwako.

Olunnaku olwaleero, Kitatta akomyewo mu offiisi mu butongole bukya ayimbulwa okuva mu kkomera e Luzira gye yakulungula emyaka egisukka mwe 2.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, Kitatta agambye nti mu kiseera kino NRM erina okuba eky’okulabirako eri ebibiina byonna mu ggwanga era kiswaza bannakibiina kya NRM okutwalira amateeka mu ngalo n’okutuuka okwagala okwetta olwa kalulu, ekintu ekiswaza Ssentebbe w’ekibiina Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Agamba nti Lubaga erina okuba eky’okulabirako okulwanyisa abantu bonna abasuubira okwenyigira mu ffujjo era abalabudde okusigala awaka.

Kitatta One Final

Mungeri y’emu alabudde akakiiko k’ebyokulonda mu NRM, obutagezaako wadde okulangira muntu yenna atawangudde kuba kiyinza okutabangula ekibiina.

Kitatta Two